Genesis 30:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gye bujja obutuukirivu bwange bulinjulira; bw'onojja okulambula empeera yange, zonna mu mbuzi z'onoosanga nga si za bujjagijjagi, oba nga si za bitanga, oba endiga nga si nzirugavu, zinaaba nzibe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya bujagijagi, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya mabala, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe butyo obutuukirivu bwange bulimpolereza oluvannyuma, bw'olijja olw'empeera yange eri mu maaso go: buli eteri ya bujagijagi oba eya bitanga mu mbuzi, oba nzirugavu mu ndiga, eyo bw'erirabika nange eribalibwa nga nzibe.