Genesis 30:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo embuzi ennume ezirina ebiba n'eza bitanga, n'enkazi eza bujjagijjagi n'eza bitanga, na buli eyaliko ebbala eryeru, ne mu ndiga buli yonna eyali enzirugavu, zonna ezo Labani n'azikwasa batabani be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekiro ekyo Labbaani n’aggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bitanga, n’embuzi enkazi zonna eza bugondogondo n’eza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu n’aziwa abaana be bazirunde;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Labbani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga, n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ku lunaku olwo, Labani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna ez'amabalabala n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aggyamu ku lunaku olwo embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, buli eyaliko ebbala ejjeru, n'enzirugaw zonna mu ndiga, n'aziwa mu mukono gw'abaana be;