Genesis 30:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiggo gye yasusumbula n'agissa mu maaso g'ebyesero ku nsalosalo omwafukibwanga amazzi, amagana bwe gajjanga okunywa, ganywe nga gatunuulidde emiggo egyo; ensolo zaateranga kuwaka nga zizze okunywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku by’esero ensolo we zanyweranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'ebisibo mu byesero, ebisibo we byajjanga okunywera, kubanga endiga n'embuzi zawakanga nga zizze okunywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'amagana mu byesero, amagana we gajja okunywa, kubanga ensolo zaawakanga nga zizze okunywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asimba obuti bw'asasambudde mu maaso g'ebisibo ku mmanvu mu byesero eby'okunywesezaamu ebisibo we byajja okunywa; ne ziwaka amawako bwe zajja okunywa.