Genesis 30:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe zityo zawakanga zitunuulidde emiggo egyo, ne zizaala ento ez'ebiba, eza bijjagijjagi n'eza bitanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso g’obuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, n’eza bugondogondo n’eza bitanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga, n'eza bujagijagi n'eza bitanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe zaawakanga nga zitunuulidde obuti obwo, nga zizaala eza biwuuga n'ez'amabalabala n'eza bitanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga n'ezabujagijagi n'ezabitanga.