Genesis 30:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rakeli n'awa Yakobo Biluwa omuzaana we abeere mukazi we. Yakobo ne yeebaka naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa; Yakobo ne yeegatta naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amuwa Biliha omuzaana we, abe mukazi we. Yakobo ne yeegatta ne Biliha,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa: Yakobo n'ayingira gy'ali.