Genesis 30:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo obuliga yabwawulamu n'abussa waabwo, eggana n'alissa we litunuulirira eza Labani ez'ebiba n'enzirugavu. Bw'atyo amagana agage n'agassa waago, n'atagassa wamu na ga Labani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’ayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala n’azitunuza okwolekera eza biwuuga n’enzirugavu eza Labbaani. Bw’atyo ne yeekolera ebisibo eby’enjawulo, n’atagatta zize na za Labbaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'ayawula endiga enkazi n'azitunuza mu kisibo kya Labbaani nga zitunulidde eza biwunga, n'enzirugavu ez'omu kisibo kya Labbani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'ayawula endiga n'embuzi, era ensolo ezo n'azitereeza ne zitunuulira eza biwuuga oba enzirugavu ez'omu ggana lya Labani. Bw'atyo n'ayawula eggana erirye, n'ataligatta na lya Labani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ayawula mu baana, n'atunuza amaaso g'ekisibo eri aba biwuuga, n'eri abaddugavu bonna ab'omu kisibo kya Labbaani; n'ayawulako ebisibo bye, n'atabigatta n'ekisibo kya Labbaani.