Genesis 30:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe zaabanga ennafu nga tassaayo miggo. Bwe kityo ennafu nga ze zibeera eza Labani, ez'amaanyi nga za Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ez’amaanyi ne zibanga za Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe zaabanga ennafu teyabuteekangawo. Bwe zityo ennafu ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi ne ziba eza Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe zaabanga ennafu, teyabuteekangawo. N'olwekyo ensolo enafu ze zaabanga eza Labani, ez'amaanyi nga ze ziba eza Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ekisibo bwe kyabanga ekibi, n'atabussangawo; bwe zityo embi ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi nga ze za Yakobo.