Genesis 30:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bw'atyo n'agaggawala nnyo nnyo, amagana n'afuna nkumu, ssaako abazaana, abaddu, eŋŋamiya, n'endogoyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo, n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo omusajja Yakobo n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'amagana mangi, n'abazaana, n'abaddu, n'eŋŋamiya, n'endogoyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja ne yeeyongera nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi.