Genesis 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rakeli n'agamba nti: “Katonda anejjeerezza n'awulira okwegayirira kwange n'ampa omwana ow'obulenzi;” olw'ekyo n'amutuuma Daani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laakeeri n'ayogera nti, “Katonda asaze omusango, era awulidde eddoboozi lyange, ky'avudde ampa omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya lye Ddaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Raakeeli n'agamba nti: “Katonda asaze omusango ku lwange, era awulidde eddoboozi lyange, n'ampa omwana ow'obulenzi.” Kyeyava amutuuma erinnya Daani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laakeeri n'ayogera nti Katonda ansalidde omusango, era ampulidde eddoboozi lyange, era ampadde omwana ow'obulenzi: kyeyava amutuuma erinnya lye Ddaani.