Genesis 30:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Biluwa omuzaana wa Rakeli n'aba olubuto omulundi omulala, n'azaalira Yakobo omwana omulala ow'obulenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Biliha omuzaana wa Raakeeli, n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri.