Genesis 31:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'awulira nga batabani ba Labani beemulugunya nti: “Yakobo atutte ebya kitaffe byonna, era ku bya kitaffe kw'afunidde obugagga buno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti, “Yakobo atutte ebintu byonna ebyali ebya kitaffe; era mu byo mw'afunidde obugagga obwo bwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'awulira batabani ba Labani nga bagamba nti: “Yakobo atutte byonna ebyali ebya kitaffe, era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde obugagga obwo bwonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti Yakobo byonna ebyali ebya kitaffe abimuggyeeko; era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde ekitiibwa ekyo kyonna.