Genesis 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde obw'okuwaka bwe bwatuuka, nali mu kirooto ne nsitula amaaso ne ndaba ng'embuzi ennume ezirinnyira eggana za biba, za bujjagijjagi, na za bitanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu biro ebisibo mwe biwakira nnaloota ne ndaba ng'ebuzi ennume ezaalinnyira ebisibo zaali za biwuga, bujagijagi ne kiweewoweewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu biseera amagana mwe gawakira, naloota, ne ndaba ng'embuzi ennume ezaalinnyira amagana, zaali za biwuuga n'ez'amabalabala, n'eza kiweewoweewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu biro ekisibo bwe kyawaka amawako, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndabira mu kirooto, era, laba, embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo.