Genesis 31:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: ‘Yimusa amaaso, laba embuzi ennume zonna ezirinnyira eggana za biba, za bujjagijjagi, na za bitanga. Nalaba byonna Labani bye yakukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, ‘Yimusa kaakano amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, bujagijagi, ne kiweewoweewo; kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aŋŋamba nti: ‘Yimusa amaaso go olabe. Embuzi zonna ennume ezirinnyira amagana, za biwuuga n'eza bitanga n'eza kiweewoweewo, kubanga ndabye byonna Labani by'akukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Yimusa kaakaao amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo: kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukolera.