Genesis 31:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Katonda w'e Beteli gye wasiigira ejjinja omuzigo, ne weeyama n'okweyama gye ndi. Kale nno situka, vva mu nsi eno, odde mu nsi ey'obuzaale bwo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo; kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Katonda eyakulabikira e Beteli, gye wafukira omuzigo ku jjinja ery'ekijjukizo, era gye wankolera obweyamo. Kaakano situka oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo: kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.