Genesis 31:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agoba amagana ge gonna, n'atwala na byonna bye yali afunidde e Paddani-Aramu, n'alaga eri Yizaake kitaawe mu nsi Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atwala ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yafunira e Padanalaamu, addeyo eri kitaawe Isaaka, mu nsi ya Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atwala amagana ge gonna n'ebintu bye byonna, bye yali afunye mu Paddanaraamu, agende ewa Yisaaka kitaawe, mu nsi ya Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atwala naye ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza, ebisibo bye yali afunye, bye yakuŋŋaanyiza mu Padanalaamu, agende eri Isaaka kitaawe mu nsi ya Kanani.