Genesis 31:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'alaba nga Labani takyamwagala nga bwe yamwagalanga mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'alaba nga Labbaani takyamusanyukira ng'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo era n'alaba nga Labani takyamusanyukira nga bwe yakolanga edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'alaba amaaso ga Labbaani, era laba, nga tegakyafaanana gy'ali ng'olubereberye.