Genesis 31:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'ajja eri Labani Omwaramu ekiro mu kirooto n'amugamba nti: “Wekkaanye, Yakobo tomuwuunako kigambo, kibeere kirungi oba kibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'alabikira Labbaani Omusuuli mu kirooto ekiro, n'amugamba nti Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'ajjira Labani Omwarameeya ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Weegendereze, oleme kubaako kantu konna k'ogamba Yakobo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ajjira Labbaani Omusuuli mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi.