Genesis 31:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labani n'agamba Yakobo nti: “Lwaki wakola otyo n'onnimbalimba, n'otwala bawala bange ng'omunyago gw'olutalo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'agamba Yakobo nti: “Lwaki wannimba n'otwala bawala bange ng'abaanyagibwa mu lutalo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Labbaani n'agamba Yakobo nti Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala?