Genesis 31:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsobola okukukola akabi, naye jjo ekiro Katonda wa jjajjaawo yaŋŋambye nti: ‘Wekkaanye, Yakobo tomuwuunako kigambo, kibeere kirungi oba kibi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnina obuyinza okukukolako obubi, naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti, ‘Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oba oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnina obuyinza okukukolako akabi. Naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti: ‘Weegendereze, oleme kubaako kantu konna k'ogamba Yakobo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiri mu buyinza bw'omukono gwange okukukola obubi: naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro, nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi.