Genesis 31:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo ne mu b'eŋŋanda zo; nzija kubeera naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo; nange nnaabeeranga wamu naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo, nze nnaabeeranga wamu naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yakobo nti Ddayo mu nsi ya bajjajja bo, era eri baganda bo; nange naabeeranga wamu naawe.