Genesis 31:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo gw'onoosanga ne balubaale bo wa kufa. Fuuza nga ne baganda baffe balaba, buli ekikyo kyonna ky'onoosanga, twala butwazi.” Yakobo yali tamanyi nga Rakeli ye yali abbye bulubaale. Labani n'ayingira weema za Yakobo n'eya Leya n'ey'abaweereza bombi, teyazuula kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye gw’onoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli gw'onoosanga ne bakatonda bo attibwe. Kaakano nga tuliwano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu ebibyo ebiri mu byange obitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri yabba bakatonda ba kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli gw'onoosanga ne balubaale bo, anattibwa. Wano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu buli ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Raakeeli yabba balubaale ba Labani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli gw'onoolaba ng'alina bakatoada bo, taabe mulamu: mu maaso ga baganda baffe yawulamu ebibyo ebiri ewange, obyetwalire. Kubanga Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri ye yababba.