Genesis 31:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yafuluma weema ya Leya n'ayingira mu weema ya Rakeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey’abaweereza bombi; naye n’atalaba bakatonda be. N’ava mu weema ya Leeya, n’ayingira mu ya Laakeeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'ayingira n'ayaza mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema y'abazaana bombi, kyokka n'atazuula balubaale be. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu ya Raakeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri.
Recommended Reading