Genesis 31:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Rakeli yali bulubaale abuggyeyo ng'abukwese mu kitebe ky'eŋŋamiya, ng'abutuddeko. Labani yanoonya wonna mu weema naye teyazuula kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laakeeri yali atutte baterafi, ng'abakweese mu matandiiko g'eŋŋamira ng'abatuddeko. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Raakeeli yali atutte balubaale ab'omu maka, n'abateeka mu nsawo ey'oku katebe akatuulwako ku ŋŋamiya, n'abatuulako. Labani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabazuula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laakeeri yali atutte baterafi, n'abassa mu matandiiko g'eŋŋamira, n'abatuulako. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba.