Genesis 31:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rakeli n'amugamba nti: “Mukama wange aleme kunsunguwalira olw'obutasobola kuyimirira ng'oli wano, kubanga ndi mu biseera by'abakazi.” Yanoonya, naye bulubaale teyabulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laakeeri n’agamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira w’oli kubanga ndi mu mpisa y’abakazi.” Labbaani n’anoonya naye n’atalaba bakatonda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laakeeri n'agamba kitaawe nti, “Mukama wange tosunguwala kubanga siyinza kuyimirira w'oli nga ndi mu mpisa y'abakazi.” Labbaani n'anoonya, naye n'atalaba baterafi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Raakeeli n'agamba kitaawe nti: “Ssebo, tosunguwala okulaba nga siyinza kuyimirira mu maaso go, kubanga ndi mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.” Labani n'anoonya, naye n'atazuula balubaale be ab'omu maka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba kitaawe nti Mukama wange aleme okusunguwala kubanga siyinza kukuyimirira w'oli kubanga ndi mu mpisa y'abakazi. N'anoonya, naye n'atalaba baterafi.