Genesis 31:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'asunguwala, n'ayombesa Labani nti: “Ensobi yange ye eriwa? Kibi ki kye nakola olyoke ompondere?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani ng'agamba nti, “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'asunguwala, n'anenya Labani n'amugamba nti: “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani: Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikungoberesezza embiro?