Genesis 31:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ofuuzizza ebyange byonna, oliko ekikyo kyonna eky'omu nnyumba yo ky'osanzeemu? Kiggyeeyo okisse wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo batusalirewo ffembi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabyemu ekikyo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango ffembi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyazizza ebintu byange byonna. Kiki ku by'omu nnyumba yo ky'ozudde? Kiteeke wano mu maaso g'ab'ekika kyange n'ag'ab'ekika kyo, batusalirewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabye ku bintu byonna eby'omu nnyumba yo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango fembi.

Recommended Reading