Genesis 31:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ntyo bwe nakuweereza mu nnyumba yo emyaka amakumi abiri. Ekkumi n'ena, lwa bawala bo, ate omukaaga nga nnunda magana go; empeera yange wagiwaanyisa emirundi kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; n’akuweereza emyaka kkumi n’ena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyaka egyo abiri (20) gye nnali mu nnyumba yo; nnakuweerereza emyaka kkumi n'ena (14) olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga (6) olw'ebisibo byo; naye ggwe wakyusakyusa empeera yange emirundi kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu myaka egyo amakumi abiri gye mbadde mu maka go, nakuweerereza emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'amagana go, naye ggwe n'okyusakyusa empeera yange emirundi kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emyaka egyo abiri nabeeranga mu nnyumba yo; nakuweererezanga emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'ekisibo kyo; naawe wawaanyisanga empeera yange emirundi kkumi.