Genesis 31:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa Katonda wa Kitange, Katonda wa Yiburayimu, Entiisa ya Yizaake, teyannyamba, wandinsiibudde ngalo nsa. Jjo ekiro Katonda yalaba ennaku yange n'omulimu gw'emikono gyange, n'asala omusango.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, kye yavudde akunenya ekiro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Aburahamu era Katonda wa Yisaaka teyabeeranga wamu nange, kaakano tewandiremye kungoba nga sirina kantu. Naye Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kwange, n'akunenya mu kiro ekyayise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, n'akujunga ekiro.