Genesis 31:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labani n'amwanukula nti: “Abakazi, bawala bange, abaana, baana bange, amagana, magana gange, na byonna by'olaba byange; Naye nkyayinza kukola ki ku bawala bange ne ku batabani baabwe be bazadde?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labbaani n'addamu Yakobo nti, “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe be baana bange, n'ebisibo bino bisibo byange, ne byonna by'olaba wano byange; kaakati nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'addamu Yakobo nti: “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe, bange, era n'amagana gano gange. Ne byonna by'olaba wano byange. Naye olwaleero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Labbaani n'addamu n'agamba Yakobo nti Abawala be bawala bange, n'abaana be baana bange, n'ebisibo by'ebisibo byange, ne byonna by'olaba bye byange: ne leero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba baana baabwe be baazaala?