Genesis 31:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba baganda be nti: “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya, ne bakola entuumu y'amayinja, ne baliira kumpi nayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira awo awali entuumo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja,” ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu; ne baliira awo awali entuumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba ab'ekika kye nti: “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne baddira amayinja ne bagatuuma entuumu, ne baliira awo okumpi n'entuumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agamba baganda be nti Mukuŋŋaanye amayinja; ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu: ne baliira awo awali entuumu.

Recommended Reading