Genesis 31:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labani n'agamba nti entuumu y'amayinja eno ebeere bujulizi wakati waffe olwa leero. Kyeyava agituuma Galeedi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labbaani n’agamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labbaani n'ayogera nti, “Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero.” Erinnya lyayo kye lyava libeera Galeedi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'agamba nti: “Entuumu eno ye mujulirwa wakati wo nange olwaleero.” Kyeyava etuumibwa erinnya Galeedi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Labbaani n'ayogera nti Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero. Erinnya lyayo kyeryava libeera Galeedi: