Genesis 31:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era n'agituuma Mizupa ng'agamba nti: “Omukama akette wakati wange naawe bwe tuliba nga buli omu yeesudde munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’empagi n’agiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “ Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era Mizupa, kubanga Labani yagamba nti: “Mukama alamulenga wakati wo nange bwe tuliba nga tetukyalabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Mizupa, kubanga yayogera nti Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana.