Genesis 31:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Ndaba kitammwe takyanjagala nga bwe yanjagalanga mu kusooka. Kyokka Katonda wa kitange abadde nange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange abadde wamu nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira nga bwe yakolanga edda, naye Katonda wa kitange abadde wamu nange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Ndabye amaaso ga kitammwe nga tegakyafaanana gye ndi ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange yabeeranga nange.