Genesis 31:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oliba obonyaabonyezza bawala bange, bw'oliba oleese abakazi abalala n'obabagattako, ne bwe wataliba muntu ali naffe, laba, Katonda ye mujulirwa wakati waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onoobonyaabonyanga abaana bange, era bw'onoowasanga abalala awali abaana bange, tewali muntu ali naffe; laba, Katonda ye mujulirwa wakati wange naawe.