Genesis 31:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entuumu y'amayinja eno n'ejjinja be bajulirwa okukakasa nti nze siribuuka ntuumu eno kujja gy'oli, naawe tolibuuka ntuumu y'amayinja eno na jjinja lino kujja kunkola kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entuumu eno ye mujulirwa era n’empagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe nga nze siriyita ku ntuumu eno ku kulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe, nga nze siriyita ku ntuumu eno kukulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entuumu eno eneebeeranga omujulirwa, n'empagi ebeerenga omujulirwa, nga nze siriyita ku ntuumu eno okugenda gy'oli, era nga naawe toliyita ku ntuumu eno n'empagi eno okujja gye ndi, okukola obubi.
Recommended Reading