Genesis 31:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wa Yiburayimu ne Katonda wa Nakori batusalirewo.” Yakobo n'alayira mu linnya ly'Entiisa ya kitaawe Yizaake.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe atulamule.” Yakobo naye n’alayirira bw’atyo Katonda, Entiisa ya kitaawe Isaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamulenga wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Isaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda wa Aburahamu era Katonda wa Nahori, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Yisaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe. Yakobo n'alayira Entiisa ya kitaawe Isaaka.