Genesis 31:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'aweereza ebitambiro ku lusozi, n'ayita baganda be ne balya. Bwe baamala okulya, ekiro ne bakimala mu lusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'aweerayo ssaddaaka ku lusozi, n'ayita abantu be okulya emmere; ne balya emmere, ne babeera ku lusozi okukeesa obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'aweerayo ekitambiro ku lusozi, n'ayita ab'oku ludda lwe okulya emmere. Ne balya. Ne bamala ekiro kyonna ku lusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'aweerayo saddaaka ku lusozi, n'ayita baganda be okulya emmere: ne balya emmere, ne babeera ku lusozi ne bakeesa obudde.