Genesis 31:55 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku makya ennyo Labbaani n’agolokoka n’asiibula bazzukulu be ne bawala be ng’abagwa mu kifuba; n’abawa omukisa, n’addayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be, n'abasabira omukisa; Labbaani n'asituka n'addayo ewuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera mu makya Labani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be n'abasabira omukisa, n'asitula okuddayo ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera batabani be ne bawala be n'abasabira omukisa: Labbaani n'agenda, n'addayo mu kifo kye.