Genesis 31:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka kitammwe yandyakula empeera yange n'agiwaanyisa emirundi kkumi; kyokka Katonda teyamuleka kunkolera bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kitammwe yannimba, n'akyusanga empeera yange emirundi kkumi (10); naye Katonda teyamuganya kunkola bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula kitammwe yannimba, n'akyusakyusa empeera yange emirundi kkumi, kyokka Katonda teyamuganya kunkolako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kitammwe yannimba, n'awaanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi.