Genesis 31:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yagambanga nti: ‘Eza bijjagijjagi, y'eneeba empeera yo,’ endiga zonna zaazaalanga za bijjagijjagi. Ate bwe yakyusanga n'agamba nti: ‘Zonna ez'ebiba y'eneeba empeera yo,’ eggana lyonna lyazaalanga za biba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi; era bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yagambanga nti: ‘Ez'amabalabala ze zinaaba empeera yo,’ amagana gonna ne gazaala ez'amabalabala. Bwe yagambanga nti: ‘Eza biwuuga ze zinaaba empeera yo,’ amagana gonna ne gazaala eza biwuuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yayogeranga bw'ati nti Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi: era bwe yayogeranga bw'ati nti Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.