Genesis 32:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labani bwe yazuukuka ku makya, n'anywegera batabani be ne bawala be, n'abawa omukisa n'addayo ewaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo ne yeeyongera mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo ne yeegendera, ne bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.