Genesis 32:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo ne yeegayirira nti: “Katonda wa jjajjange Yiburayimu, Katonda wa kitange Yizaake, Mukama, ggwe waŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi yo ne mu b'eŋŋanda zo; nzija kukuwa obeere bulungi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
sisaanira, n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yoludaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibiina bibiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
sisaanira n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yorudaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibinja bibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n'amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo; kubanga nawunguka Yoludaani guno nga nnina muggo gwokka; ne kaakano nfuuse ebibiina bibiri.