Genesis 32:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sisaanidde bya kisa na byonna eby'obwesigwa by'olaze omuweereza wo. Nasomoka Yorudani nga nnina muggo buggo, kati nkomawo nga nnina ebibinja bibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange Esawu, kubanga mmutya, aleme okunzita n'abaana bange ne bannyaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde, mponya muganda wange Esawu kubanga mmutya, sikulwa ng'ajja n'atutta ffenna, nga tataliza na bakazi wadde abaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n'abaana baabwe.