Genesis 32:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ntaasa mu mikono gya muganda wange Ezawu, kubanga ntidde ajja kutta abaana ne bannyaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe wayogera nti, ‘Siiremenga ku kukola bulungi, era nnaafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye wagamba nti: ‘Ndikuluŋŋamiza buli kantu, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutayinza kubalika olw'obungi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola bulungi, era naafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.