Genesis 32:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eŋŋamiya eziyonsa n'obuto bwazo amakumi asatu, ente enkazi amakumi ana n'ennume kkumi; endogoyi enkazi amakumi abiri n'ensajja kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abikwasa abaddu be, buli kisibo nga kiri kyokka; n'abagamba nti, “Munkulembere musomoke, naye mulekeewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azikwasa abaddu be, buli ggana nga liri lyokka, n'abagamba nti: “Munkulemberemu, era mulekeewo ebbanga wakati w'eggana erimu n'eggana eddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abiwa mu mukono gw'abbadu be, buli kisibo kyokka; n'agamba abaddu be nti Munkulembere musomoke, musseewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.