Genesis 32:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'azikwasa abaweereza be buli ggana lyokka. N'agamba abasajja be nti: “Munkulemberemu; mugende nga muleka ebbanga wakati w'eggana ne linne waalyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti, “Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti, ‘Oli w'ani? Ogenda wa? Ebyo by'oli nabyo by'ani?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira eyakulemberamu nti: “Muganda wange Esawu bw'anaakusisinkana n'akubuuza nti: ‘Oli w'ani, era ogenda wa? N'ensolo ezo ezikukulembeddemu z'ani?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti Oli w'ani? era ogenda wa? n'ebyo ebiri mu maaso go by'ani?