Genesis 32:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwanukula nti: ‘Bya muweereza wo Yakobo, birabo abiweerezza mukama wange Ezawu. Naye yennyini atuli awo mabega ajja.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'alagira n'ow'okubiri, n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti, “Esawu bwe munaamusisinkana,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'alagira n'owookubiri, n'owookusatu, n'abalala bonna abaagoba amagana, n'abagamba nti: “Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamusisinkana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'alagira n'ow'okubiri n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamulaba.