Genesis 32:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira bw'atyo owookubiri n'owookusatu, na bonna abaali bagoberera amagana ng'agamba nti: “Bwe musanga Ezawu, mwenna mwogere ebigambo bye bimu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaamugamba nti, ‘omudduwo Yakobo atuvaako mabega.’ ” Yakobo yagamba nti, “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, aboolyawo anannyaniriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaagamba nti: ‘Ddala omuweereza wo Yakobo atuvaako mabega!’ ” Yakobo yagamba nti: “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, oboolyawo anannyaniriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaayogera nti Era, laba, omuddu wo Yakobo ali nnyuma waffe: Kubanga yayogera nti Naamuwooyawooya n'ekirabo ekinankulembera ne ndyoka mmulaba amaaso ge; mpozzi anannyaniriza.