Genesis 32:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga mwongerako na kino nti: ‘Ne Yakobo yennyini omuweereza wo ajja atugoberera.’ ” Kubanga yali alowooza nti: “Nnaamuwooyawooya n'ebirabo ebikulembeddemu, oluvannyuma nange bwe nnaamusisinkana oboolyawo anankwatirwa ekisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekirabo ne kimukulembera ne kisomoka: naye ye yennyini n'asula ekiro ekyo wamu n'ekibiina.