Genesis 32:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirabo ne bimukulemberamu, naye ye n'asigala mu lusiisira ekiro ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu (11), n'asomoka Omugga Yabboki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomoka Omugga Yabboki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka ekiro ekyo, n’addira bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomokera mu musomoko gw'e Yaboki.